Deuteronomy 21

Etteeka ku Butemu ng’Eyatemula Tamanyiddwa

1Bw’olimala okuyingira mu nsi Mukama Katonda gy’akuwa okugirya, omuntu n’asangibwa mu nsiko ng’attiddwa, kyokka ng’eyamusse tamanyiddwa, 2bakadde bo, abakulembeze, n’abalamuzi bo banaafulumanga ne bagenda bapima obuwanvu bw’ebbanga okuva ku mulambo okutuuka ku bibuga ebinaabanga bigwebulunguludde. 3Kale nno abakadde abakulembeze b’ekibuga ekinaabanga kisinga okuliraana n’omulambo ogwo, banaaddiranga ente enduusi etakozesebwangako mulimu gwonna, etassibwangamu kikoligo, 4ne bagiserengesa mu kiwonvu ekirimu akagga akakulukuta; ekitalimwangamu wadde okusimbwamu emmere. Mu kiwonvu omwo mwe banaanyoleranga ensingo y’ente eyo ne bagimenya. 5 aKale nno batabani ba Leevi, bakabona, banaavangayo ne basembera, kubanga Mukama Katonda wo yabalonda okumuweerezanga, n’okusabiranga emikisa mu linnya lya Mukama n’okutereezanga empaka zonna n’obulumbaganyi. 6 bAwo abakadde abakulembeze bonna ab’omu kibuga ekinaasinganga okuliraana omulambo ogwo, banaanaabiranga engalo zaabwe ku nte eri enduusi eyamenyebbwa ensingo mu kiwonvu
Ke kabonero akalaga ng’omuntu yejeeredde omusango gw’obussi.
,
7ne boogera nti, “Emikono gyaffe si gye gyayiwa omusaayi guno, ne bwe gwali guyiyibwa amaaso gaffe tegaagulaba, tetwaliwo nga guyiyibwa. 8 dOsonyiwe abantu bo, Isirayiri, be wanunula Ayi Mukama Katonda, oleme kuleka wakati mu bantu bo, Isirayiri, omusango ogw’okuyiwa omusaayi, gwe batazzanga.” Bwe batyo banaasonyiyibwanga omusango gw’omusaayi ogwo. 9 eBw’otyo bw’onoggyangawo omusango wakati wammwe ogw’okuyiwa omusaayi ogutaliiko nsonga, kubanga onoobanga okoze ekituufu mu maaso ga Mukama Katonda.

Okuwasa Omukazi Omunyage

10 fBw’ogendanga okutabaala balabe bo, Mukama n’abagabula mu mikono gyo n’onyagayo abantu, 11mu abo abanyagiddwa bw’onoolabangamu omukazi alabika obulungi n’omwagala, n’oyagala okumuwasa, 12 gomutwalanga mu maka go, n’omulagira okumwa omutwe gwe, n’okusalako enjala ze, 13 hn’engoye ze mwe yawambirwa azeeyambulangamu. Bw’anaamalanga mu nju yo omwezi mulamba ng’akungubagira kitaawe ne nnyina, onoogendanga gy’ali n’obeera bba, naye anaabeeranga mukazi wo. 14 iKyokka bw’anaabanga takusanyusizza, omuwanga eddembe n’agenda so tomutundanga nsimbi. Tomuyisanga nga muddu, kubanga ggwe wamumalamu ekitiibwa kye.

Eddembe ery’Obwebange ery’Omwana Omubereberye

15 jOmusajja bw’anaabanga n’abakazi babiri, omu nga muganzi naye omulala nga mukyawe, bombi ne bamuzaalira abaana aboobulenzi, naye ng’omwana omubereberye ye w’omukyawe; 16 kbw’anaabanga agabira batabani be abo ebintu bye mu ddaame lye, takkirizibwenga kuyisa mwana wa muganzi ng’omubereberye, singa omwana w’omukyawe ye mubereberye. 17 lAnaasaaniranga okukkiriza nti omwana w’omukyawe ye mubereberye, era anaamuwanga emiteeko ebiri egy’ebintu bye byonna by’alina, kubanga oyo ge maanyi ga kitaawe amabereberye. Ye nannyini ddembe ery’obwebange ery’omwana omubereberye.

Abaana Abakakanyavu Abatawulira

18 mOmuntu bw’anaabanga ne mutabani we omukakanyavu omujeemu atagondera biragiro bya kitaawe wadde ebya nnyina, atabafaako bwe bamubonerezaamu olw’obutawulira, 19kitaawe ne nnyina banaamukwatanga ne bamuleeta eri abakulu abakulembeze ab’omu kibuga kye waabwe nga bali wabweru w’omulyango gw’ekibuga ekyo. 20Banaategeezanga abakulu abakulembeze b’omu kibuga kye waabwe nti, “Mutabani waffe ono mukakanyavu era mujeemu. Tatuwulira. Wa mulugube nnyo era mutamiivu.” 21 nKale nno abasajja b’omu kibuga ekyo banaamukubanga amayinja ne bamutta. Bw’otyo bw’onoomalangawo ekibi wakati wo. Isirayiri yenna anaakiwuliranga, n’atya.

Amateeka Agatali Gamu

22 oOmuntu bw’anaasingibwanga ogw’okufa n’attibwa, n’awanikibwa ku muti, 23 pomulambo gwe teguulekebwenga ku muti ne gusulako ekiro kyonna; onoomuziikanga ku lunaku olwo lwennyini, kubanga omuntu awanikibwa ku muti, Katonda aba amukolimidde. Togwagwawazanga nsi Mukama Katonda wo gy’akuwa okugirya okubeera obusika bwo obw’enkalakkalira.

Copyright information for LugEEEE